era nga galabika gayingidde munda mu mubiri gw’ekisenge,38olwo kabona anaafulumanga mu nnyumba eyo, n’agiggala okumala ennaku musanvu.39Ku lunaku olw’omusanvu kabona anaakomangawo n’akebera ennyumba eyo. Bw’anaasanganga ng’obulwadde busaasaanidde ku bisenge by’ennyumba...